CBS FM UG
15.8K posts
Laadiyo y'Obujjajja ey'Obwakabaka bwa Buganda. Eno ye Page yaffe entongole. Twegatteko.
- Kitalo... Hon Ssegirinya Muhammad MR UPDATE Mp Kawempe North Afudde.
- Sipiika wa @Parliament_Ug Rt. Hon @AnitahAmong yeeyamye okuweerera omu ku baana b'omugennzi Hon Muhammad Ssegiriinya , Nagiriinya era bwamaliriza primary amutwale mu ssomero lye e Bukedea. #CBSFmUpdates
- Meddie Nsereko: Mpaayo ensoga ttaano ezikulondesa Hon Robert Kyagulanyi ku bwa President. Hon Gorreth Namugga: kankuwe emu, mukulembeze ssi mufuzi. #CBSFmUpdates
- "Sente sinazifuna era nzirinze kuba ngwanidde okufuna akasiimo"- Hon @MathiasMpuuga
- Tusabire nnyo omuyimbi Dr. Jose Chameleon omulwadde, Katonda amussuuse. #CBSFmUpdates
- Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n'ava mu mmotoka ye n'awuubira ku bayizi abadde bazze okulambula olubiri lw'e Mengo. #CBSFmUpdates
- Naye mmwe, ono omukazi gwe twalabanga mu mwezi edda nga yeetisse enku aweese n'omwana yalaga wa? #CBSFmUpdates
- Njakwewuunya nnyo aba NUP okujja e Kira okunzijjayo nga mu palamenti mwandabamu amakulu ne mumpa obwa minisita bw’ebyensimbi...!
- Obwakabaka bwa Buganda bugenda kubangawo ebbanguliro lya Tekinologia “Buganda Digital Hub” okubangula abavubuka mu nkozesa y’ebyuma kalimagezi okukola emirimu egy’ekikugu n’okutumbula obuyiiya. Mu mbeera yeemu Obwakabaka bwakutegeka enkungaana z’abakugu mu byuma kalimagezi




















